Omu ku bawala abalumiriza omugagga Brian Kirumira amanyiddwa nga Bryan White okubasobyako Vivian Mutanda alaze nti mwetegefu okuwa obujjulizi bw’abadde anyonyola embeera gy’abadde ayisibwamu omuli okubasobyako ekirindi n’okugyamu embuto 3.

Mutanda yeyasoose okweyanjula mu kakiiko ka Palamenti ak’eddembe ly’obuntu, ku bawala abalina okwemulugunya ku Bryan White, okutegeeza embeera gy’abadde ayisibwamu ng’ali mu maka ga Bryan White e Buziga- Munyonyo okuva 2017.

Mu kakiiko, agambye nti abadde akola nga ‘Usher’ n’okumyuka omuwandiisi mu Foundation  ya Bryan White kyokka abadde yamufuula mukyala we ssaako n’emikwano gye.

Mungeri y’emu agambye nti embuto 3 abadde alina omusawo azimugyamu mu bitundu bye Busabala, nga Bryan abadde amuwa ssente eziri mitwalo 50 okugyamu embuto nga tazeetaaga.

Mutanda  era yagambye nti Bryan White abadde abalemesa okuva awaka ye ne mukwano gwe Nandawula Stella ng’abo abakozi abapya abawala, bakirizibwa okutambulamu singa bagaana okwegadaanga naye.

Mu kakiiko, Mutanda yawanjagidde Bannayuganda obutamusalira musango nti Malaaya bwe yategezeeza nti ekyamutwala ewa Bryan White kunoonya ssente nga abakozi abalala okwebezaawo wabula si kwetunda.

Eddoboozi lya Mutanda

Ate Maama wa Nandawula, Stella Ndawula Mutebi naye mu kakiiko, yalabiseeko era yategeezezza nti Bryan White abadde yamulemesa dda, okulaba ku mwana we.

Akakiiko kasuubiza okuyita abantu bonna abali mu nsonga ezo nga bakulembeddwamu omugagga Bryan White okwewozaako.