Mu kiseera nga bannayuganda bagamba nti omugagga Brian Kirumira amanyiddwa nga Bryan White yaggwamu, nate buli lunnaku ebipya bizuuka.

Bryan White yali amanyikiddwa mu kumansa ssente n’okusingira ddala mu 2019 kyokka embeera yamutabukako ng’aweddemu.

Ku ntandikwa y’omwezi guno Ogwokutaano, abawala okuli Vivian Mutanda, Nandawula Stella n’abalala bavaayo nga balumirizza omugagga Bryan White okubakaka omukwano n’okuggyamu embuto Wansi wa Bryan White Foundation wabula Bad Black ng’amannya ge amatuufu ye Shanita Namuyimbwa abatabukidde.

Bad Black amanyikiddwa mu kutunda akaboozi agamba nti Bryan White yamuwa obukadde bwa ssente 100 mu ddoola okumusisinkana era abantu balina okumusiima.

Bad Black era atabukidde Mutanda, Nandawula n’abalala abagamba nti Bryan White yabakaka akaboozi. Bad Black agamba nti Mutanda ne banne bamalaaya era balina okukomya okusiiga Bryan enziro.

Ebigambo bya Bad Black, biraga nti Bryan White okwagala ennyo akaboozi n’okuwanibwa, zezimu ku nsonga lwaki yaggwamu wadde teri ayinza kunyonyola engeri gye yali afunamu ssente.