Abawagizi batabukidde omuyimbi Fik Fameica ne Lydia Jazmine okuvaayo mu lwatu okutegeeza ensi oba ddala kituufu buli omu ayagala munne.

Ebigambo byogerwa nti Fik ali mu laavu ne Jazmine era mbu ne ku lunnaku lwa Eid Al-Fitr, Jazmine bamwanjula eri Famire ya Fik.

Ebigambo by’abantu, basinzira ku nsonga ez’enjawulo omuli enkolagana eyamaanyi wakati waabwe ssaako ne Fik okweyambisa Jazmine mu vidiyo y’oluyimba lwe Muko.
Mu luyimba Muko, Fik agamba nti, “Nze maliridde leero nsazeewo
Bakumpe nkutwale mu butongole
Obulungi bw’oliko sijja kulwawo
Omuko enkoko ne bw’antuma enkongole
From anther to stigma
Like pollen grains leero tukukima
Ago amaaso agaaka nga sitima
Bwe watunula watwala mutima.

Muko, muko, muko njagala mwannyoko
Mwannyoko
Muko, muko, muko nsaba ompe mwannyoko
Mwannyoko
Abalungi ntoko, ntoko, ntoko nasiima mwannyoko
Mwannyoko
Muko, muko, muko nsaba ompe mwannyoko“.

Enkolagana n’ebigambo ebiri mu luyimba, abantu kwebasinzira okugamba nti tewali kubusabuusa kwonna, Fik ayagala Jazmine era babasabye okuvaayo okutegeeza eggwanga mu lwatu okusinga okulya ebintu mu nkukutu.