Wuuno omwana omuto ali mu myaka 6 asomoozezza omuyimbi Rema Namakula, mukyala wa Dr. Hamzah Ssebunya, bw’avuddeyo okusaba Gavumenti okuyamba ku nsonga za Eddy Kenzo.

Kenzo mu kiseera kino ali mu ggwanga erya Ivory Coast omuggalo gye gwamusanga era sabiti ewedde yakubira sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga essimu okumusaba okumuyamba asobole okudda mu Uganda kuba ssente zimuweddeko, embeera eyongedde okumunyigiriza.

Wabula n’omwana ku myaka 6 wadde talina ssente, asobodde okweyambisa eddoboozi lye okusaba Gavumenti okuyamba Kenzo okudda.
Omwana yekubisizza ekifaananyi ng’akutte ekipande okuwandikiddwa twagala Kenzo ewaka, “WE WANT EDDY KENZO HOME“.

Omwana asomoozezza eyali mukyala wa Kenzo, Rema Namakula okumusooka okuvaayo okusaba obuyambi.
Rema wadde yazaala mu Kenzo omwana, tayagala kumanya okugyako okusanyusa bba Dr. Ssebunya.