Abawagizi b’omuyimbi Eddy Kenzo batabukidde mukyala Dr. Hamzah Ssebunya, Rema Namakula ku Face Book era mu kiseera kino waliwo olutalo lw’ebigambo.

Entabwe evudde ku Rema okuteeka ebifaananyi bye ng’ali ne bba Dr. Ssebunya ku Face Book ku lunnaku lwa Eid Al-Fitr wakati mu mukwano wabula ebifaananyi bitabudde Brian Akatwijuka agambibwa okuba omuwagizi wa Kenzo.

Akatwijuka agamba nti kiswaza Rema okuteeka alubaamu y’ebifaananyi ku Face Book okulaga nga bw’ali mu laavu ne bba kyokka nga Kenzo eyali bba asobeddwa eka ne mu kibira mu Ivory Coast.

Mungeri y’emu agamba nti Rema alina okulabira ku Juliana Kanyomozi eyateeka ekifaananyi kimu ku Face Book okulaga ensi nti azadde ne kitambula ensi yonna.

Ebigambo bya Akatwijuka bitabudde abawagizi be Rema era mu kiseera kino okwerangira kukyagenda mu maaso ku Face Book.