Poliisi ekutte omwana ku by’okutta kitaawe ku kyalo Kyuma mu ggombolola y’e Myanzi mu disitulikiti y’e Kasanda.
Omwana Seruyange Godfrey yakwattiddwa ku by’okutta Kitaawe Senyonjo Enoc myaka 60 bwe yamukubye akabazzi ku mutwe akaamuttiddewo.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, omwana Seruyange yayingidde mu nju ya kitaawe okubba emmwanyi obudde bw’ekiro kyokka kitaawe bwe yavuddeyo okutaasa emmwanyi ze, yamukubye akabazzi ku mutwe era yagudde wansi okutuusa lwe yafudde.
Enanga agamba nti Seruyange akwattiddwa ku misango gy’obutemu.
Eddoboozi lya Enanga