Minisitule y’ebyobulamu erangiridde nti olunnaku olw’eggulo abantu 32 bazuuliddwa nti balwadde, balina Covid-19 kw’abo 2,222 abaakebeddwa ne baweza omuwendo gw’abalwadde 489.

Abalwadde bonna Bannayuganda nga 19 kw’abo 1,693 baavudde ku nsalo ku baakebeddwa ate 13 kigambibwa obulwadde baabuggya ku ba ddereeva “Contacts” kw’abo 423 abakebeddwa.

Ku baddereeva 19 abazuuliddwa nti balwadde, 14 bagiddwa ku nsalo y’e Elegu, 2 Malaba, 2 Busia ate 1 Mutukula.

Ate ku basawo 106 abaakebeddwa, bonna bazuuliddwa nga balamu.

Ate 13 abagambibwa nti obulwadde baabuggya ku ba ddereeva 7 batuuze b’e Kyotera, 2 Tororo, 1 Wakiso, 1 Yumbe, 1 Mpigi ssaako ne Gomba 1 era bonna  baakebeddwa okuva mu Kalantini.

Okusinzira ku Dr. Charles Olaro nga y’avunaanyizibwa ku by’obujjanjabi mu Minisitule y’ebyobulamu, mu kiseera kino Uganda erina abalwadde 391 abali malwaliro 15 nga bali mu mbeera nungi, 79 basiibuddwa nga bawonye Kolona era akubirizza abantu okwongera okwekuuma.