Poliisi etubuulidde wetuuse mu kunoonyereza ku mukyala eyasaangiddwa ng’afiiridde mu ssabo ku kyalo Kirwanira Cell mu ggombolola y’e Matuga-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso.
Omukyala Nansamba Norees, abadde mutuuze we Ntebbe, yafiira mu Ssabo sabiti ewedde ku Lwokutaano bwe yali atwaliddwa ku musawo w’ekinnansi Kayinja Shaban e Matuga.
Sabiti ewedde, Omusawo w’ekinnansi Kayinja yategeeza nti omukyala Nansamba bamutuusa ku ssabo lye ng’ali mu mbeera mbi okutuusa lwe yafa.
Wabula Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti, okunoonyereza kulaga nti omukyala yattibwa oluvanyuma lw’okumusobyako.
Enanga agamba nti mu kiseera kino balina abantu 3 okuyambako Poliisi mu kunoonyereza omuli omusawo w’ekinnansi Kayinja n’abakozi be okuli Mukwanga Siraji ne Luswata Johnson.
Eddoboozi lya Enanga