Abatwala ebyobulamu mu Tawuni Kanso y’e Kasensero mu disitulikiti y’e Kyotera bali mu kunoonya omusajja munnansi wa Tanzania eyadduse okuva mu kifo mwe yabadde ateekeddwa, okulinda Ambulensi okumutwala mu ddwaaliro.

Omusajja eyo munnansi wa Tanzania y’omu ku balwadde 9 abazuuliddwa nti balina Kolona ku Kasensero okuva mu bantu abaakebeddwa era yabadde ateekeddwa mu kifo ekimu, okulinda Ambulensi okumutwala mu ddwaaliro e Mbarara ne banne 4 kwekudduka.

Dr. Ronald Reagan Mutebi akulira ebyokulwanyisa Kolona mu kitundu kyo, agamba nti okunoonya omusajja kukyagenda mu maaso nga bayambibwako poliisi n’amaggye wabula balina okutya nti ayinza okusiiga abantu abalala.

Ate Musa Bwanika Mutima, ssentebbe wa LC 3 e Kasensero agamba nti okunoonya abantu abaaliko n’abalwadde abazuuliddwa kukyagenda mu maaso, bonna okuzuulibwa.

Wabula RDC we Kyotera Maj. David Matovu, agambye nti Poliisi n’amaggye boongedde ebyokwerinda ku Lake Victoria, okulemesa bannansi ba Tanzania, okuyingira mu ggwanga mu nkukutu, ekiyinza okutambuza obulwadde.