Bya Nalule Aminah

Poliisi, atandiise okunoonyereza ku mwanamuwala eyakwattiddwa ku misango gy’obutemu oluvanyuma lw’okutta muwala munne olwa kayimba ke yamuyimbidde.

Omuwala Manishima Phiona myaka 20 omutuuze ku kyalo Lusaka cell mu ggombolola y’e Kahoora mu disitulikiti y’e Hoima yakwattiddwa ku misango gy’okutta mukwano gwe Fatuma myaka 17 oluvanyuma lw’okuyimba akayimba kagaamba nti kaabadde kamukoona.

Manishima yakutte akambe nakatuunga Fatuma ku kifuba era yafudde bakamutuusa mu ddwaaliro ekkulu e Hoima.

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti Manishima yakwattiddwa dda ku misango gy’obutemu ku kitebe kya Poliisi e Hoima era okunoonyereza ekyavudde ettemu, kutandikiddewo n’okuzuula akayimba akaabadde kayimbibwa.

Wabula abamu ku batuuze abagaanye okwatuukiriza amaanya gaabwe bagambye nti Fatuma yaganziza muganzi wa Manishima ate yabadde amuyimbira akayimbi akalaga nti omusajja yamusuddewo, ekyavuddeko okumutuunga akambe.