Omukyala Zari Hassan atabukidde abantu ab’enjawulo ku mikutu gya ‘Social Media’, abagamba nti akuze era alina okugyesonyiwa.
Zari myaka 40 agamba nti wadde akuliride mu myaka, tewali mateeka galaga nti omukulu talina kuba ku mitimbagano gya yintanenti n’okusingira ddala ogwa Face Book ne Instagram.

Agamba nti wadde alina emyaka 40, akooye akamanyiro k’abantu ku mitimbagano era omuntu yenna atamwagala, waddembe okwesonyiwa emikutu gye.
Zari agamba nti bangi ku bawala abato wakati w’emyaka (18-30) bali mu mbeera mbi, tebalabika bulungi kyokka ne badda mu kumanyira abantu nga ye abalabika obulungi.
Vidiyo