Abafumbo basindikiddwa ku limanda mu kkomera, ku misango gy’okutambuza obuseegu ku ssimu zaabwe.

Bano okuli ssemaka Hamis Musota ne mukyala we Donah Werukwendera ssaako ne mukwano gwabwe, Tracy Nangendo basimbiddwa mu kkooti mu maaso g’omulamuzi Marion Mangeni owa Buganda Road akawungeezi ka leero.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ivan Kyazze, Musota ne mukyala we Werukwendera, kigambibwa basooba ne bayingira mu nnyumba y’omu ku basuubuzi e Iganga ng’ali mu kaboozi ne mukwano gwaabwe Nangendo ne bakwata akatambi.

Oluvanyuma, bategeeza omusuubuzi okubawa obukadde bwa ssente 150 oba okuta akatambi ku mikutu migatta bantu ng’ali kusinda mukwano.

Omusuubuzi yaddukira ku Poliisi ne babakwata kyokka we basimbiddwa mu kkooti, bonna begaanye omusango.

Omulamuzi Mangeni, abakyala bombi abasindise ku limanda mu kkomera e Kigo ate omusajja Musota asindikiddwa mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 18, June, 2020, nga kivudde ku ludda oluwaabi okusaba okuweebwa akadde okunoonyereza n’okwekeneenya ebiwandiiko byabwe ebisaba okweyimirirwa.