Poliisi etubuulidde wetuuse mu kunoonyereza ku mwana eyakwattiddwa ku misango gy’okutta kitaawe, asobole okusikira eby’obugagga.

Ssemaka Lwanga Simon myaka 60 abadde omutuuze ku kyalo Galigatya mu ggombolola y’e Kimenyede mu disitulikiti y’e Mukono, yattiddwa mu kiro ky’olunnaku Olwokusatu.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agambye nti Poliisi ekutte Nakazzi Sarah omu ku baana b’omugenzi ku misango gy’okutta Lwanga abadde omutuuze mukwata mpola.

Enanga agamba nti okunoonyereza kulaga nti Nakazzi yekobaanye ne muganzi we Wasajja Ibrahim okutta kitaawe asobole okwezza eby’obugagga.

Poliisi egamba nti Nakazzi ne bba Wasajja, bakwattiddwa okuyambako mu kunoonyereza.