Mu Uganda, abasajja bangi balina omuze okwekuba akasabuuni ekikendeeza amaanyi g’ekisajja.

Wabula Kojja Kityo omukugu mu kunoonyereza ku nsonga z’omukwano, alambuludde engeri omuvubuka yenna gy’asobola okwewala akasabuuni mu bulamu bwe.

1 – Wesonyiwe ebifaananyi oba vidiyo z’obuseegu. Kojja agamba nti abavubuka bangi balina vidiyo n’ebifaananyi eby’obuseegu mu ssimu zaabwe ekintu eky’obulabe. Agamba nti singa osembeza obuseegu nga tolina mukyala, y’emu ku nsonga lwaki abantu beekuba akasabuuni.

2 – Funa eby’okukola. Ssenga Kityo agamba nti tewali muntu yenna ayinza kwekuba kasabuuni ng’alina ebyokukola. Agamba nti ebirowoozo ebingi ku nsonga z’omukwano, bangi bawunzikira mu kasabuuni.

3 – Olina okukendezza obudde ng’oli wekka kuba kiyinza okuleetera ebirowoozo by’okwekuba akasabuuni olw’okulowooza ku kaboozi.

4 – Olina okusalawo. Kojja Kityo agamba nti omuntu yenna okuva ku kintu olina okusalawo nga tewali akukase. Agamba nti singa okola endagaano n’omutima gwo ssaako n’obwongo, kigenda kuyamba nnyo okwesonyiwa akasabuuni kuba temuli kalungi.

5 – Webuuze ku bantu ab’enjawulo, okujjumbira okukola dduyiro okuyambako okwejjako ebirowoozo ebikyamu, olina okunoonya ebintu ebitwaliriza obudde kuba bigenda kuyambako okutwaliriza obudde bwo okusinga okulowooza akasabuuni.