Aba Takisi abakolera mu disitulikiti y’e Busia balabudde nti okubalemesa okutambuza abantu, kyongedde okubanyigiriza ssaako n’okutekawo omuwatwa, oguyinza okutambuza Kolona.
Ab’e Busia, abeegatira mu kibiina kyabwe ekya Busia Taxi Drivers and Conductors Association, bagamba nti eky’omukulembeze w’eggwanga okulemesa emmotoka z’olukale okuddamu okutambuza abantu mu disitulikiti eziri okumpi ku nsalo, bamu baddukidde mu disitulikiti endala okuli Bugiri, Iganga, Mbale n’ebitundu ebirala, okunoonya ensimbi okwebezaawo.
Wabula balabudde, bangi ku balwadde ba Kolona okuva mu nsi ezituriranye, basobole okuyingira Uganda ne batambula nga tewali abagambako, ekiyinza okulwaza bangi ku bannayuganda.
Abdul Ssekubwa ng’avugira mu bitundu bye Busia agamba nti singa Takisi zakkiriziddwa okuddamu okutambuza abantu, kyandibadde kiyambako okulondoola abasabaze nga bayita mu kuwandiika amaanya gaabwe okusinga okuwa omwaganya abantu okutambula okuva ku nsalo, ekiyinza okuba ekyangu mu kutambuza obulwadde.
Ate Aramazani Manyiri, agamba nti omukulembeze w’eggwanga yekka yasigadde okubayamba okubakkiriza okudda ku mirimu kuba embeera eyongedde okubanyigiriza.
Manyiri agamba nti beetegefu okwekebejja buli muntu ayingira mu Takisi zaabwe n’okuteeka mu nkola engeri zonna ez’okutangira Kolona okusasaana.
Uganda mu kiseera kino erina abalwadde 646 aba Corona Virus.