Kyaddaki Famire n’ekitongole ky’amaggye bafulumizza enteekateeka y’okuziika munnamaggye Maj. Gen. Kasirye Ggwanga afudde enkya ya leero mu ddwaaliro e Nakasero.

Okusinzira ku nteekateeka, Maj. Gen. Ggwanga wakuziikibwa ku Lwokutaano nga 12, June, 2020 mu disitulikiti y’e Mityana.

Okuva olunnaku olwaleero ku Lwokubiri, Omulambo gwakusigala nga guterekeddwa ku kitebe ky’amaggye e Bombo.

Eby’okukuma olumbe bigyiddwawo olwa Covid-19 ate abantu abanaazika bakulondebwamu.

Amyuka omwogezi w’amaggye, Lt Col Deo Akiiki Asiimwe agambye nti Gen Kasirye Ggwanga balina okumuziika mu kitiibwa kye ekimugwanidde.

Kasirye Ggwanga abadde muwi w’amagezi eri Pulezidenti ku nsonga z’ebyokwerinda mu Buganda. Yazaalibwa mu 1952 e Katakala mu Mityana era afiiridde ku myaka 68.