Uganda, ezudde abantu 11 abalala nga balina Covid-19 kw’abo 657 abaakebeddwa olunnaku olw’eggulo.

Ku balwadde 11, 6 kigambibwa baaliko n’abantu abalwadde ‘contacts” mu disitulikiti y’e Amuru ne Kyotera.

Abalwadde 5 bazuuliddwa nga baddereeva ku nsalo y’e Elegu ssaako ne Malaba.

Uganda mu kiseera kino erina abalwadde 657 nga 103 basiibuddwa malwaliro, tewali muntu yenna yaafudde Kolona.