Poliisi etandiise okunoonya abaana basatu (3) ku misango gy’okutta kitaabwe akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.

Abaana abaliira ku nsiko kuliko Silver Kisenge, Catherine Kayiyi ne Harriet Nabifo, abatuuze ku kyalo Buwambwa mu ggombolola y’e Buwambwa mu disitulikiti y’e Namisindwa.

Kigambibwa abaana bekobaanye okutta kitaawe John Situmwa ali mu gy’obukulu 65 nga bagamba asukkiridde okubaloga n’okuba n’omukono mu kutta nnyabwe Margret Nelima mu 2018.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Elgon, Rogers Taitika agamba nti baana baguddwako emisango gy’obutemu era Poliisi etandiise okubanoonya.

Poliisi ewanjagidde abatuuze okubakwasizaako mu kunoonya abaana, abali ku misango gy’obutemu mu kiseera kino.