Poliisi y’e Kabale ekutte abantu 14 abasaangiddwa nga basaba makati mu kibira kye ku ssaawa nga 7 ez’emisana, nga bakungaanye, ekintu ekiyinza okutambuza Kolona.
Okusinzira ku Poliisi, basangiddwa nga basaba nga basukka 50 kyokka badduse ng’abasirikale batuuse era bakutteko 14 bokka.
Abamu ku bakwattiddwa kuliko Tushabe Ruth myaka 27, Naume Nahwera 30, Orishaba Mercy 23, Ninsima Grace 28, Bosco Innocent 46, Alex Shema 26 nga batuuze okuva ku byalo okuli Kigongi, Kamikira n’ebirala mu Monisipaali y’e Kabale.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, abakwattiddwa bali ku misango gy’okugyemera omukulembeze w’eggwanga ne bakungaana okusaba, ekintu ekiyinza okutambuza obulwadde.
Maate agamba nti abakwate essaawa yonna bakubatwala mu kkooti