Minisitule y’ebyobulamu ezudde abantu 8 nga balina Covid-19 kw’abo 2,423 abaakebeddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri.

Ku balwadde 8, 4 baddereeva nga 3 bazuuliddwa ku nsalo y’e Elegu ate omu (1) ku nsalo y’e Mutukula nga yavudde mu ggwanga erya Tanzania.

Ate 4 kigambibwa baaliko n’abantu abalwadde ‘contacts” nga 2 mu disitulikiti y’e Kyotera, 1 Kayunga nga n’omulala omu (1) mu disitulikiti y’e Amuru.

Ate baddereeva 31 okuli bannansi ba Kenya 16, Tanzania 8, Eritea 5, 1 Burundi ne South Sudan 1 abazuuliddwa nga balwadde, baziddwayo mu nsi zaabwe.

Okusinzira ku Dr. Henry Mwebesa, akulira eby’obujjanjabi mu minisitule y’ebyobulamu, Uganda mu kiseera kino erina abalwadde 665 ate 119 basiibuddwa malwaliro nga bawonye Kolona.