Abakiise ba Palementi abatuula kakiiko akalondoola ebyenfuna by’eggwanga banokoddeyo ebizibu, ebiyigiriza abayizi ku Yunivaasite ez’obwanannyini, ekiviiriddeko abayizi okwekalakaasa n’okuwanduuka nga balemereddwa.
Abakiiko nga bakulembeddwamu Ssentebbe Saida Bbumba, bagamba nti Yunivaasite ez’obwanannyini, zegumbulidde okulinyisa ebisale nga tewali abagambako, okumala gasomesa abayizi ne bafuluma nga balina kunoonya bunoonya mirimu ssaako n’okuwa ebifo abayizi abagudde ebigezo mu S4 ne S6, ekyongedde okutta eby’enjigiriza nga bbo baliwo kunoonya bunoonya ssente.
Ensonga ezo okumanyika, Kidiridde akulira ekibiina ekigata abamyuuka ba Chancellor ku University ekya Uganda Vice Chancellors’ Forum, Prof Paul Edward Mugambi okweyanjula mu kakiiko k’ebyenfuna, okubategeeza engeri gye bakoseddwamu olwa Kolona.
Prof Mugambi agamba nti olw’embeera eri mu ggwanga, tebalina ssente okuwa abasomesa emisaala, okuliisa abaana, okuddukanya emirimu ku Yunivaasite singa ziggulwawo era bwatyo asabye Gavumenti okubakwasizaako n’ensimbi enkalu ssaako n’okubasonyiwa emisolo.