Wakati nga bannansi bakunguba olw’okufa kwa Maj. Gen. Kasirye Ggwanga, abamu ku bannakisinde kya People Power sibasanyufu kuba afudde abalagudde.
Maj. Gen. Kasirye Ggwanga yafa ku lunnaku lwakubiri mu ddwaaliro e Nakasero era agenda kuziikibwa olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano nga 12, June, 2020 mu disitulikiti y’e Mityana.
Kasirye Ggwanga afudde alagudde nti omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine tasobola kuwangula bwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 2021.
Ggwanga abadde agamba nti Bobi Wine muvubuka, alina obuwagizi mu bantu ate abantu bamwagala nnyo kyokka akyali mwana muto nnyo mu byobufuzi bya Uganda era alina okulinda 2026 okwesimbawo ng’afunye obumalirivu kuba obwa Pulezidenti tabusobola mu kiseera kino era abantu bayinza okutya okumulonda.
Ebigambo bya Maj. Gen. Kasirye Ggwanga bangi ku bannakisinde kya People Power baludde nga babiwakanya nga bagamba nti kino kye kiseera ekituufu Bobi Wine okwesimbawo kuba mu Uganda abavubuka bangi tebalina mirimu ate ye muntu omutuufu okukola ku nsonga zaabwe.
Sabiti eno, Bobi Wine yalangiridde nti Ketonye kagwake, alina okuvuganya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu kulonda kwa 2021.
Twebuuza Maj. Gen. Kasirye Ggwanga yali mutuufu oba nedda?, tulinde 2021