Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde musajja we Maj.Gen. Kasirye Ggwanga eyafudde ku lunnaku Olwokubiri mu ddwaaliro e Nakasero.
Maj.Gen. Kasirye Ggwanga aziikiddwa olwaleero mu disitulikiti y’e Mityana ku kyalo Nkene era Kabaka agambye nti ggwanga abadde musajja mulwanirizi wa ddembe.

Mungeri y’emu agamba nti Ggwanga abadde muntu mumalirivu, omukozi era alumirirwa ennyo ekitundu kyasibuka.
