Omuvubuka myaka 16 yesse oluvanyuma lw’okumulemesa okusobya ku muto we myaka 6 ku kyalo Industrial Area mu Monisipality y’e Mukono.

Kigambibwa omulenzi yasangiddwa nnyina omuto Nusula Nakigiri ng’ayagala kusobya ku mwana era nasuubiza okumuloopa ewa kitaawe Sowed Kabugo.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, omuvubuza olw’okuswala, yesibidde mu kabuyonjo neyetuga n’ omuguwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga.

Taata Kabugo agamba nti mutabani we yagaana okusoma nga muto era abadde atunda kabalagala ku kyalo.

Omwana gw’abadde agenda okusobyako mujjananyina era ku myaka 6 kigambibwa yabadde amusuubiza shs 500.

Eddoboozi lya Kabugo