Minisita omubeezi ow’ekikula ky’abantu n’ebyobuwangwa Peace Mutuuzo awanyisiganyizza ebigambo n’abakiise ba Palamenti abatuula kakiiko k’eddembe ly’obuntu ku nsonga y’abawala abalumiriza Omugagga Brian Kirumira amanyiddwa nga Bryan White, okubasobyako kirindi n’okubatulugunya.

Ebigambo okuwanyisiganyizibwa , kiddiridde Minisita Mutuuzo okutegeeza nti omuwala Stella Nandawula agambibwa nti Bryan White yamusobyako n’okumutulugunya, kirabika ebyamutuusibwako byonna yali anyumirwa nga y’emu ku nsonga lwaki yalemwa okuloopa eri Poliisi wadde okutegezaako muntu yenna okumuyamba wabula okutoloka kyokka naddayo eri Bryan White olw’okunyumirwa okuliyo.

Ebigambo ebyo, bitabudde ab’akakiiko ne basaba Minisita Mutuuzo abimenyewo kyokka neyerema, ekivuddeko okuwanyisiganya ebigambo.

Minisita Mutuuzo era ebikudde ekyama nti waliwo abaana abawala n’abakyala abatulugunyizibwa nga beesimidde nga y’emu ku nsonga lwaki batya, okutegeeza ku b’obuyinza, okuyambibwa.

Minisita mu kakiiko, era akubirizza abazadde okubuulirira abaana baabwe, bakule nga basobola okulwanirira eddembe lyabwe n’okuvaayo ku buli nsonga yonna ebanyigiriza.

Ebigambo bya Minisita, abyesigamizza ku bigambibwa nti Nandawula yayambibwako n’ekibiina ky’obwanakyewa ekirwanirira eddembe ly’abakyala n’abaana ekya UGANET okumugyayo ewa Bryan White kyokka oluvanyuma yaddayo, ekiraga nti ebikolebwayo bimuwa essanyu.

Bryan White  asubirwa mu kakiiko essaawa yonna, naye okwewozaako.

Eddoboozi lya Minisita Mutuuzo