Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga ayogeddeko eri Obuganda ne ggwanga lyonna okutwaliza awamu emisana ga leero era anokoddeyo ensonga 8 enkulu mu kiseera kino.
Katikkiro Mayiga ng’asinzira ku Bulange e Mmengo agambye nti
1. Obulwadde bwa Ssenyiga Kolona bukyaliwo era busse ne Bannayuganda mu America ne Bungereza. Tweyongere okwambala obukokoolo, okunaaba mu ngalo ate n’obutabeera mu bifo birimu bantu bangi nnyo nga bwekisoboka. Teri ddagala mukiseera kino so okwewala obulwadde kikulu nnyo
2. Abapangisa ne banannyini bizimbe batuule wansi bakaanye kubanga lino lye ddagala lyokka
3. Twewale nnyo obusambatukko mu maka
4. Siriimu akyaliwo era naye abantu bakole ekisoboka okumwewala
5. Gavumenti yayisizza embalirira yaayo n’egamba nti ewadde abantu ebbanga lya myeze 3 okusasula emisolo egyimu naddala eri amakampuni amatono naye ebbanga eryawereeddwa ttono nnyo ddala. Kino gavumenti esaana ekitunulemu
6. Gavumenti esaana egyewo emisolo ku mazzi n’amasanyalaze mu kiseera kino.
7. Abaana bali waka basomera ku mutimbangano abamu. Gavumenti esaana egyewo oba ekendeeze emisolo ku busagaanda (internet bundles) mu kiseera kino
8. Gavumenti okwongeza ssente ku mafuta kigenda kwongeza ebbeeyi ku bintu ebirala byonna kyokka ng’abantu tebalina mirimo mu kiseera kino. Kino kisaanye kitunulwemu.