Bya Nalule Aminah
Omubbi asimatuuse okuttibwa ku ssaawa ya Queen okumpi ne Container village bw’abadde agezaako okubba essimu.
Kitegerekese nti omubbi ye Ali Ssekito amanyikiddwa nga Black nga ku ssaawa nga 6 ez’emisana, ayagadde okunyakula essimu ku musajja abadde mu mmotoka ekika kya Nadia namba UAM 523E wabula ekirungi, omusajja amukutte omukono.
Emmotoka ebaddemu abasajja babiri (2) era omu yamunywezezza omukono.
Ssekito akubye enduulu okutaasibwa era abasuubuzi bakungaanye ne batandiika okumuyisaamu empi, ensambaggere ssaako n’emiggo.
Wakati mu kulukusa omusaayi okuva mu kamwa, nga n’omusajja omukono akyagunywezezza, Poliisi okuva ku Nakivubo Blue, etuuse okutaasa embeera, Ssekito obutattibwa.
Ku nsonga ya Ssekito, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Oweyesigyire agambye nti olunnaku olw’enkya wakutwalibwa mu kkooti ku misango gy’obubbi.
VIDIYO