Okunoonyereza kulaze nti abaana 25 wakati w’emyaka 6 ne 14 baasobezeddwako mu disitulikiti y’e Lyantonde mu myezi egyasooka ng’omukulembeze w’eggwanga asindise abantu ku muggalo, ng’emu ku ngeri y’okutangira Kolona okusasaana.

Alipoota efulumiziddwa abakulembeze mu kitundu ekyo abali mu kibiina ky’obwannakyewa, abegattira mu kibiina kyabwe ekya ‘Department of Community Based Services’ nga basinzidde ku bikolwa eby’okutyoboola eddembe ly’abaana wakati wa 19, ogwokusatu, 2020 okutuusa 19, Ogwokutaano, 2020.

Alipoota eraze nti mu myezi 6, abaana abakunukiriza mu 300 basobezeddwako.

Ate mu ggombolola y’e Lyakajula ne Kasangama mu Tawuni Kanso y’e Lyantonde, abaana 25 battikiddwa embutto.

Ate ng’omukulembeze w’eggwanga tannasindika bantu ku muggalo, abaana 56 baasobezebwako e Lyantonde, omuli abasajja abatamanyiddwa, abamu baakwatibwa nga mulimu n’abengaanda.

Ku nsonga eyo, addumira Poliisi mu kitundu ekyo Didas Byaruhanga agamba nti abazadde basukkiridde okusirikira ensonga z’abaana baabwe abasobezeddwako ekivuddeko Poliisi okufuna emisango emitono ku baana abasobezeddwako.

Ate omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Lyantonde Pauline Kemirembe awanjagidde abatuuze okusitukiramu okulwanyisa ebikolwa eby’okutyoboola eddembe ly’abaana.