Minisitule y’ebyobulama ekawangamudde bw’etegeezezza, terina  wadde ekikumi kyebagenda okuwa Omukugu mu nsonga z’akaboozi Shanita Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad Black kubanga tebalina ndagaano gyebaakola naye eraga nti yalina okusasulwa oluvanyuma lw’okukola akalango ng’akuunga abakyala abasamba ogw’ensimbi  obutagezaako wadde kwesembereza baddereeva ba Tuleera kuba y’emu ku ngeri y’okutangira Kolona okusasaana.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala enkya ya leero, Minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng agambye nti basiima omulimu ogwakolebwa Bad Black naye eby’ensimbi, tebabimanyi wadde era baafulumiza n’ekiwandiiko ku ntandikwa ya sabiiti eno, eraga nti omulimu gwe yakola tewali ndagaano ne Minisitule wadde abakulu mu Gavumenti eraga nti baali balina okumuwa ensimbi.

Bad Black ennaku zino awanda muliro, ayagala Minisitule y’ebyobulamu emusasule obukadde bwa ssente 500 okuli ez’akalango n’okumwonoonera ebiseera nga bamutambuza ate singa bagaana okumuwa ssente ze, agenda kubatwala mu Kkooti ya East Africa.

Akalango ke, akalabula abasamba ogw’ensimbi okwewala baddereeva kali ku TV ez’enjawulo kyokka kigambibwa nti aba kampuni ya Precision Communications Consulting Limited yamutuukirira ku nsonga eyo, era ne bakola akalango.

Wabula aba Precision bagamba nti Bad Black yakola akalanga ku lw’obulungi bw’eggwanga lye ng’abantu abalala abazze bawaayo mu lutalo lwa Covid-19.

Eddoboozi lya Dr. Aceng