Omugagga Brian Kirumira amanyiddwa nga Bryan White talabiseeko mu kakiiko ka Palamenti ak’eddembe ly’obuntu wadde ab’akakiiko bakedde kumulindirira.
Akakiiko kali mu kunoonyereza ku bigambibwa nti Bryan White abadde yegumbulidde okusobya ku baana abawala, okubatulugunya n’okubagyamu embutto.

Abawala abalumiriza Bryan White okubakolako ebikolobero okuli Stella Nandawula, Vivian Mutanda, Leticia Nabulime n’abalala nga bagamba nti buli Poliisi eremeddwa okubayamba kuba mikwano gya Bryan White ate nga bamutya.
Mungeri y’emu bagamba nti Bryan White alina Poliisi emukuuma nga n’abasirikale batya okumukwata.
Olunnaku olw’eggulo, avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyobufuzi mu kitongole kya Poliisi Afande Asan Kasingye bwe yabadde mu kakiiko, yabikudde ekyama nti abasirikale abakuuma Bryan White bava mu maka g’obwa Pulezidenti.

Bryan White abadde alindiriddwa mu kakiiko wabula bannamateeka be aba ABNO Adcocates, bawandikidde ab’akakiiko, okubategeeza nti omuntu waabwe (Bryan White) mulwadde nga yetaaga sabiti 2 ku 3 okuwona.
Abakakiiko, bakirizza okusaba kwa Bryan White era bamulagidde okweyanjula gye bali nga 25, omwezi guno ogwomukaaga, ku ssaawa 4 ez’okumakya.

Okusinzira ku kiwandiiko ekiteekeddwako omukono amyuka ssentebbe w’akakiiko, Taaka Agnes singa Bryan White agyema okweyanjula mu kakiiko wakutwalibwa ng’omugyemu ssaako n’okulangirira ekiddako.