Abakulu mu kibiina ky’obwanakyewa ekirwanirira eddembe ly’abasajja ekya Men’s Forum Uganda bakuutidde abakyala okusosowaza akaboozi ku buli nsonga yonna ekwata ku maka.

Bano nga bakulembeddwamu ssenkulu w’ekibiina ekyo Lauben Muhabuzi, bagamba nti akaboozi y’engeri yokka omukyala gy’asobola okuwangaza obufumbo n’okusikiriza omusajja okumuwa buli keyetaaga.

Muhabuzi agamba nti omusajja yenna okuwa omukyala emmotoka, ekyapa ky’ettaka, amassimu ag’ebbeeyi, okubatambuza okulya obulamu, okubambaza obulungi, buli mukyala yenna, alina okulaga nti musufu mu kusinda omukwano, ekiwa omusajja essanyu okumutusaako byeyetaaga.

Mungeri y’emu agambye nti ekisinga okutta abasajja, butafuna kamala olw’abakyala okwekuniza.

Ate ku nsonga y’okulwanyisa obutabanguko mu maka, Muhabuzi awanjagidde Gavumenti okuteekawo etteeka nga mwana azaalibwa, balina okumugyako endaga butonde.

Agamba nti abasajja okwekengera abaana abali maka gaabwe, y’emu ku nsonga lwaki obutabanguko bweyongedde mu baagalana.

Muhabuzi era abikudde ekyama nti bangi ku bakyala basanyufu olw’okufuna embutto mu kiseera eky’omuggalo.

Agamba nti bangi ku bakyala bandyagadde okubongezaayo ennaku z’omuggalo, olw’abasajja abamu okulaga nti bategeera omukwano mu kiseera kino olw’emyezi gye bakulungudde nga bali bombi era bakuse bulungi akaboozi.

Okubyogera nga Bataata betekateeka okuzza olunnaku lwabwe olukuzibwa buli nga 21, Ogwomukaaga era asinzidde ku Media centre mu Kampala enkya ya leero.

Eddoboozi lya Muhabuzi