Omwana omulenzi myaka 17 mu ggwanga erya South Africa anoonyezebwa ku misango gy’okusobya ku bato be era bonna mu kiseera kino balina embutto.
Okusinzira ku mukyala Rose Berry ku mukutu ogwa Twitter, omulenzi abadde abeera n’abato be okuli owe 15 ne 13 mu kiseera nga bali ku muggalo ogwa Kolona nga nnyabwe abadde ku mulimu ng’akola.
Omulenzi, mu sabiti 5 nga basula bokka mu nnyumba, abadde asula mu kaboozi ne bato be era nnyabwe agenze okudda ng’abaana bonna bali mbuto.
Abaana abawala bakirizza nti mukulu waabwe abadde abalaga firimu z’obuseegu buli kiro ate oluvanyuma nga balina okubiteeka mu nkola.
Omulenzi oluvanyuma adduse olw’okutya Poliisi okumukwata ate maama atutte abaana mu ddwaaliro okwongera okubekebejja.