Kyaddaki omuyimbi Rema Namakula ayogedde amazima nti bba Dr. Hamzah Ssebunya yamuyamba okumwagala era y’emu ku nsonga lwaki amwenyumirizaamu.

Rema yayanjula bba Dr. Ssebunya mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka oluvanyuma lw’okusuulawo taata w’omwana we omuyimbi Eddy Kenzo.

Okuva omwaka oguwedde ogwa 2019 okutuusa olunnaku olwaleero, Rema akoze ebintu eby’enjawulo, okulaga ensi nti ye ne bba Dr. Ssebunya ebintu bitambula bulungi wakati waabwe.

Rema kyaddaki ayogedde amazima nti Dr. Ssebunya yamuyamba okumwagala kuba Kenzo yali amuzaddemu omwana ate sikyangu abavubuka okutwala omukyala eyazaalako, “Forever grateful to this wonderful man for embracing my daughter and i…..you have made us feel special and loved in every kind of way. Sikyangu kwagala mukazi azadeko nolwekyo we are blessed to have you“.

Ebigambo bya Rema, biraga nti alina okweguya ennyo Dr. Ssebunya wadde Sereebu kuba omusajja yakkiriza okumwagala n’omwana we.