Bya Nalule Aminah
Abatuuze b’e Luzira, Mutungo, Biina ne Kitintale omuli aba saluuni, bododaboda ssaako ne Loogi, bakedde kwekalakaasa nga bawakanya eky’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okubagaana okudda ku mirimu gyabwe, mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19.

Abatuuze bakedde kungaanira Kitantale nga bakutte ebipande okuwandikiddwa, ‘Twagala kukola Tukooya awaka’ ssaako n’okuteeka emisanvu mu kkubo omuli ebiyinja ssaako ne Kasasiro.

Mu kwekalakaasa bagambye nti embeera esukkiridde okubanyigiriza nga betaaga ensimbi okufuna eky’okulya, ez’okupangisa amayumba ssaako n’okulabirira famire zaabwe.
Aba saluuni, bagambye nti bakooye okulinda era ye ssaawa okudda ku mirimu gyabwe oba sikyo, bagenda kweyambula okulaga emmere y’abasajja.

Mu kwekalakaasa nga bazibye ekkubo ne balemeseza ezimu ku mmotoka z’ekitongole eky’amakkomera okutambula okumala eddakika ezisukka mu 10.

Wabula omwogezi w’ekitongole eky’amakkomera Frank Baine abalabudde obutakiddamu kuba tewali kuddamu kubattira ku Liiso.
Eddoboozi ly’abatuuze