Omukulembeze w’eggwanga erya Guinea-Bissau Umaro Sissoco Embaló agobye baminisita 5 omulundi gumu.
Baminisita abagobeddwa kuliko ow’ebyokwerinda, ensonga z’omunda mu ggwanga, ebyenfuna, ebyobulimi ne eby’amasanyalaze.

Pulezidenti Embaló tawadde nsonga yonna lwaki bagobeddwa wabula kigambibwa nti baludde nga benyigira mu kubba ensimbi z’eggwanga n’okulemwa okutambuza obulungi emirimu.

Pulezidenti Embalo asuubirwa mu Palamenti essaawa yonna okuwa ensonga ye lwaki baminisita abagobye