Omwana Peter Waiswa nga muyizi ku yunivasite y’e Kyambogo ali maziga, oluvanyuma lwa mukama we munnansi wa China, okumusamba ebintu by’ekyama.

Waiswa agamba nti mu kiseera kino nga Yunivasite ziggaddwa, yanoonya omulimu okunoonya ‘School Fees’ ssaako n’okuyamba ku nnyina Jessica Nabirye.

Omulimu, yagufuna mu Kampuni ya Global Paper limited ku kyalo Mbalala mu disitulikiti y’e Mukono abakola ku by’empapula ssaako ne Plywood, okunoonya akasente, okusobola okutambuza emisomo gye.

Wabula agamba nti sabiti ewedde, Mukama we munnansi wa China ategerekeseeko erya Liu, yamusamba ebitundu by’ekyama nga tamuwadde nsonga yonna, kwe kumuddusa mu ddwaaliro erya CPR Medical Center mu kibuga kye Mukono nga n’okutambula, bamukwatiridde.

Waiswa wakati mu kulukusa amaziga, awanjagidde abantu okumuyamba okufuna amazima n’obwenkanya nga mu kiseera kino, obulumi bukyali bwamaanyi ddala nga n’abasawo betaaga akassente kaabwe akasukka emitwalo 50.

Akulira abakozi mu Kkampuni ya Global Paper limited Bonny Opendi, agaanye okwanukula ku nsonga y’okusamba Waiswa era omusasi waffe amutegezezza nti ensonga ziri ku Poliisi y’e Mukono.

Akulira Poliisi y’e Mukono Ismael Kifudde, agambye nti okunoonyereza ku nsonga y’okusamba Waiswa ebitundu by’ekyama, kukyagenda mu maaso.

Maama w’omwana eyakubiddwa Nabirye, agamba nti mutabani we Waiswa abadde akola nnyo okunoonya ssente za ‘School Fees’ kyokka Omuchina olw’okuba yeeyita musiga nsimbi yakubye mutabani we nga ne mu kiseera kino  alya butaala.

Mungeri y’emu agambye nti bba yafa mu 2013 ng’amulekedde abaana 10 era Waiswa y’omu ku mutabani omukulu abadde avuddemu okumuyambako ne ku bato be.

Eddoboozi lya Waiswa