Omubaka we Makindye West, Allan Ssewanyana akwattiddwa Poliisi enkya ya leero ku katale akamenyeddwa e Kyengeza, Munyonyo mu divizoni y’e Makindye, Kampala.
Enkya ya leero ab’ekitongole ekikuuma obutonde bw’ensi aba National Environmental Managemnet Authority (NEMA) nga bayambibwako Poliisi bakedde kumenya akatale k’e Kyengeza nga kigambibwa kali mu ntobazi era abasuubuzi bonna basigadde mu maziga.

Omubaka Ssewanyana akedde kulambula akatale akamenyeddwa era atabukidde Poliisi n’aba NEMA okumenya akatale ng’abakulembeze tebategeezeddwako, kwekusaba abasuubuzi okuvaayo ku nsonga ez’enjawulo ezibanyigiriza.
Oluvanyuma Ssewanyana akwattiddwa Poliisi ku bigambibwa nti abadde akuma omuliro mu bantu era atwaliddwa mu kifo ekitamanyiddwa.
Abasuubuzi bagamba nti abakulembeze babadde babagyako ssente wakati 1,000,000/= ne 200,000/= okufuna ekifo, oluvanyuma lw’okusengulwa okuva e Mulungu nga n’abasuubuzi abamu bavudde mu katale Ggaba olw’amazzi okweyongera.