Abatuuze basse omusajja omutemu akedde okutta abaana 3 n’okulumya abantu 8 enkya ya leero ku kyalo Kagarama mu Tawuni Kanso y’e Butemba.

Omutemu attiddwa ye Twagirayezu Emmanuel munnansi wa Rwanda akedde okulumba omu ku batuuze Alfred Mushaba ku ssaawa nga 4 ez’okumakya ng’akutte ejjambiya ng’atematema buli muntu amusala mu maaso.

Ku bantu abatemeddwa ewa Mushaba, omu ku baana attiddwa Tayebwa Joel myaka 4 egy’obukulu.

Oluvanyuma, omutemu alumbye abakyala mu nimiro mu Ssamba lya Kasooli okubatta wabula abakyala badduse kwe kutematema abaana 2 abattiddwa okuli Nakisindi Nora myaka 3 ne Nisiima Joel myezi 9.

Omutemu Emmanuel ku kyalo ekyo, abadde yapangisaako ettaka okuva ku mutuuze Kalfred Mushabe okulima kasooli era abadde yazimbako akayumba mwabadde asula.

Abatuuze bagamba nti, tewali mpalana emanyikiddwa wakati w’omutemu ssaako n’abantu bakozeeko obulumbaganyi.

Oluvanyuma lw’okudduka ng’amaze okutta abaana ssaako n’okulumya abantu 8, abatuuze bakulembeddemu okusamba ensiko, era akwattiddwa ne bamukuba okutuusa lw’afudde.

Omutemu Emmanuel, bamusanze yekwese mu nimiro mu kiswa ku ssaawa nga 9 ez’akawungeezi era abatuuze bakutte ejjambiya gye yakozeseza okutta abaana ne bamutematema okutuusa lw’afudde.

Okusinzira ku mwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine, Poliisi n’amaggye webatuukidde nga abatuuze bali mu kutekateeka, okwokya omulambo era amangu ddala gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kiboga oluvanyuma lw’okwekebejjebwa.

Mungeri y’emu avumiridde eky’abatuuze okutwalira amateeka mu ngalo kuba kiremesa Poliisi okunoonyereza okuzuula amazima.

Eddoboozi lya Twine