Okusalawo ku by’okuwulira omusango ogw’abantu abaakwatibwa ku by’okutemula eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi kwongezeddwayo okutuusa nga 21, Omwezi ogujja Ogwomunaana.
Okutekateeka okuwulira omusango ogwo, kutandiise enkya ya leero mu kkooti enkulu mu Kampala wansi w’omulamuzi Duncan Gaswaga, okutema empenda ku ngeri y’okutambuza omusango wabula oludda oluwaabi kwekusaba omulamuzi okubawaayo sabiti 3 okuwa obujjulizi oludda oluwawabirwa, kwe bagenda okusinzira okwewozaako.
Omulamuzi kwasinzidde okwongezaayo, okutuusa nga 21, omwezi ogujja Ogwomunaana.
Oluvudde mu kkooti, munnamateeka w’abasibe Antony Wameri agambye nti singa omusango guddamu okuwulirwa, eky’okutulugunya abasibe nga bakwattiddwa, y’ensonga y’okutandikirako.
Kaweesi, yattibwa nga 17, Ogwokusatu, 2017 bwe yakubwa amasasi e Kulambiro okumpi n’amakaage nga yattibwa n’omukuumi we Kenneth Erau ssaako ne ddereeva Godfrey Mambewa.
Oluvanyuma ebitongole ebikuuma ddembe byakola okunoonyereza ne bikwata abantu abasukka 50 kyokka baayimbulwa nga bagiddwako emisango, abantu 8 ne basindikibwa mu kkooti enkulu ku misango gy’obutemu n’obutujju okwewozaako.
Ku 8 kuliko Abdu Rashid Mbazira, Aramaathan Noordin Higenyi, Bruhan Balyejusa, Shafiq Kasujja, Yusuf Nyanzi, Jibril Kalyango , Joshua Kyambadde ne Yusuf Mugerwa.
Eddoboozi lya Wameri