Poliisi ekutte omukyala ku misango gy’okusobya ku mulenzi omuto ali mu gy’obukulu 16 nga kivudde ku bba okumulumya ku nsonga z’omu kisenge.

Omukyala Adongo Hellen myaka 28 nga mutuuze ku kyalo Kaler mu ggoombolola y’e Gweri mu disitulikiti y’e Soroto yakwattiddwa nga yasobeza ku mwana omulenzi n’okumusiiga siriimu.

Omulenzi, yamulimbyelimbye namutwala mu nnyumba namukozesa mu nsonga z’omukwano kyokka omukyala mulwadde wa siriimu okumala emyaka.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Adongo bamutwala mu kkooti ku misango gy’okusobya ku mulenzi omuto n’okumusiiga obulwadde.

Eddoboozi lya Enanga