Poliisi y’e Mpigi ekutte omusajja myaka 24 ku misango gy’okusobya ku mwana omuto ali mu gy’obukulu 16 n’amusiiga ne siriimu.

Buyongo Ronald nga mutuuze ku kyalo Buwama mu ggombolola y’e Buwama yakwattiddwa era Poliisi egamba nti omuwala, abadde amusobyako ng’asinzira emanju wa Kereziya.

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti Buyongo, asobezza ku muwala emirundi egisukka 6 awatali kweyambisa kapiira.

Abazadde bekengedde omwana waabwe, eyabadde alaga nti alina olubuto era okumutuusa mu ddwaaliro, abasawo ne bategeeza nti yafunye olubuto n’okumusiiga siriimu.

Omwana yakirizza okutegeeza abazadde omusajja abadde amusobyako nga basinzira emanju wa kereziya nga bageendayo nga befudde abageenda okusaba.

Enanga agamba nti omusajja Buyongo akwattiddwa ku musango gw’okujjula ebitanajja n’okusiiga omwana obulwadde.

Eddoboozi lya Enanga