Omuvubuka akwattiddwa Poliisi y’e Kasese ku misango gy’okutta nnyina lwa kugaana kumuwa ssente shs 200 okugula sigala.

Mbusa Minadabu nga mutuuze ku kyalo Kinyamaseke Store cell mu Tawuni Kanzo y’e Kinyamaseke mu disitulikiti y’e Kasese yakwattiddwa.

Minadabu yalumbye nnyina Jane Biira myaka 71 ku Lwokutaano ekiro ku ssaawa 3 ng’ayagala ssente shs 200 okufuna sigala kyokka nnyina yamutegezezza nga bwalinawo ssente.

Amangu ddala, yamututte mu kisenge namutuga okukakana ng’amusse oluvanyuma lw’okusindikiriza abazzukulu okugenda ebweru.

Minadabu oluvanyuma lw’okutta Nnyina yadduse era Omuzzukulu yakubye omulanga ogw’asoombodde abatuuze oluvanyuma ne batemya ku Poliisi.

Abatuuze bagamba nti bakoze okunoonyereza nti omutemu Minadabu yasangiddwa nga yekwese ku kyalo Kinyamaseke west cell.

Ssenga w’omugenzi Angellah Kabugho agamba nti Minadabu abadde yasuubiza dda okutta nnyina oluvanyuma lw’okutandiika okunywa enjaga.

Alex Kyankaaga, akulira Poliisi y’e Kinyamaseke agamba nti okunoonyereza ku ngeri omukadde Biira  gye yattiddwamu kutandikiddewo ate abasawo ku ddwaaliro erya Bwera basuubiza okuwa Poliisi ne Famire alipoota ku nfa y’omuntu waabwe.

Eddoboozi lya Kyankaaga