Bya Nalule Aminah

Poliisi mu Kampala ekutte abantu 16 abakedde okubalemesa okukola omulimu gwabwe.

Poliisi ekedde kunyweza byakwerinda mu Kampala ku William Street nga aba Uganda Muslim Supreme Council badizibwa ebintu byabwe omuli emizikiti.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, Gavumenti yatuukiridde abantu abaludde nga balina ebintu bya Uganda Muslim Supreme Council ne bakkiriza okubizaayo eri ekitebe ky’obuyisiraamu, ekikoleddwa enkya ya leero.

Onyango agamba nti Poliisi ekedde kunyweza byakwerinda okutangira abayinza okulemesa entekateeka wabula waliwo abantu ababadde balemesa Poliisi okukola omulimu gwayo era 16 bakwatiddwa ne batwalibwa ku Poliisi ez’enjawulo mu Kampala.

Mungeri y’emu agambye nti abakwatiddwa baguddwako emisango omuli okusalimbira mu kifo we batakkirizibwa, okulemesa Poliisi okukola emirimu n’emisango emirala era essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti.