Poliisi ku kyalo Nnyondo mu ggoombolola y’e Buwama mu disitulikiti y’e Mpigi eri mu kunoonya omutembeyi ku misango gy’okusobya ku mwana omuto ali mu gy’obukulu 11.

Omutembeyi anoonyezebwa, ategerekeseeko lya Abdul myaka 24 nga yalimbyelimbye omwana myaka 12 ali mu kibiina ekyokuna namutwala mu nsiko namusobyako.

Omutembeyi Abdul yasangirizza omwana bwe yabadde agenda mu nimiro okusanga baaba we kwe kumusobyako.

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agambye nti Omutembeyi aliira ku nsiko mu kiseera kino wabula Poliisi n’abatuuze bakwataganyeeko okumunoonya akwattibwe ku misango gy’okujjula ebitanajja.

Eddobooz lya Enanga