Poliisi ekutte omukyala ku misango gy’okuzaala omwana, namusuula mu kabuyonjo ku kyalo Kansinga mu ggoombolola y’e Kaharo mu disitulikiti y’e Kabale.

Arinda Viola ali mu gy’obukulu 16 yakwattiddwa ku misango gy’ogezaako okutta omuntu.

Arinda yazadde omwana omulenzi ku Ssande wabula oluvanyuma lw’okudda awaka, yamukutte namuteeka mu kaveera, namusuula mu kabuyonjo.

Amangu ddala Poliisi yayiyiddwa era omwana yagiddwayo ng’akyali mulamu era mu kiseera kino ali mu mbeera nungi.

Wabula Arinda akwattiddwa era ku Poliisi agambye nti yasobezebwako naafuna olubuto era okuzaala yabadde alina okutta omwana nga tamanyi kitaawe.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, Arinda aguddwako omusango gw’ogezaako okutta omuntu era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.

Mungeri y’emu agambye nti Poliisi y’e Kabale eyingidde mu nsonga okunoonyereza, okuzuula omusajja eyamusobyako naye akwattibwe.