Kyaddaki Poliisi egudde emisango gy’obutemu ku bantu 4 egy’okutta Emmanuel Tegu abadde omuyizi ku Yunivasite e Makerere.
Tegu abadde omwaka ogusembayo ng’asoma byakujanjaba bisolo era yafiiridde mu ddwaaliro e Kiruddu sabiti ewedde ku Lwokutaano nga 3, oluvanyuma lw’okukubwa nga 27 omwezi oguwedde Ogwomukaaga Okumpi ne yunivaasite e Makerere.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, okunoonyereza kulaze nti 4 abakwattiddwa nga bakulembeddwamu Kansala Oigu Charles, benyigira mu kutwalira amateeka mu ngalo ne bakuba Tegu ekyavuddeko okufa kwe.

Abalala abakwattiddwa kuliko Balam Nyekoa, Johnson Kakuru ne Moses Sekitoleko nga bonna batuuze b’e Makerere.
Newankubadde Poliisi yabadde ekutte abantu ab’enjawulo, Enanga agamba nti alipoota y’abasawo gye basobodde okusinzirako, abantu 4 abakwattiddwa, okubaggulako emisango gy’obutemu.

Agamba nti abakwate, baludde nga benyigira mu kutulugunya abantu era Tegu yafudde olw’emiggo egyamukubiddwa ku lubuto, omugongo ssaako n’ebitundu ebirala nga beyambisa n’obutebe obw’ekyuuma.
Eddoboozi lya Enanga