Kyaddaki Poliisi y’e Luweero ekutte abantu musanvu (7) omuli n’abakozi 2 b’ekitongole kya NIRA ekivunanyizibwa ku bungi bw’abantu mu ggwanga ku misango gy’okumenya Offiisi ya NIRA e Luweero ne batwala ebintu.

Offiisi zamenyeddwa ku Lwokubiri ekiro nga 7, Ogwomusanvu, 2020 ne batwala ebintu eby’enjawulo omuli Kamera 8, ne Kompyuta 8 nga kuliko Laptop 7.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savanah Isa Ssemwogerere, agambye nti poliisi ekoze okunoonyereza era 8 abakwattiddwa bateeberezebwa okuba mu lukwe olw’okumenya offiisi.

Ssemwogerere agaanye okwatuukiriza amaanya g’abantu abakwattiddwa nga bayinza okutataaganya okunoonyereza kwabwe.

Agamba nti oluvanyuma lwa Poliisi okufundikira okunoonyereza, abakwate bakutwalibwa mu kkooti.

Eddoboozi lya Ssemwogerere