Munnakibiina kya FDC eyeegwanyiza eky’omubaka omukyala owa Kampala Dr. Stella Nyanzi ne banne babiri (2) okuli Katongole Godfrey ne Newton Isaac basimbiddwa mu kkooti ya Buganda Road akawungeezi ka leero mu maaso g’omulamuzi Joan Ketty Acaa.
Bano baguddwako omusango okwefuula ekitagasa mu bantu nga bali mu katale e Nakasero nga bakute ebipande, ebiwandikiddwako “Akeedi ziggulwewo abasubuuzi bakooye omuggalo ”.
Mu kkooti, mu maaso g’omulamuzi, Dr. Stella Nyanzi ne banne omusango bagwegaanye.
Mungeri y’emu Dr. Nyanzi aloopedde omulamuzi nti mu kukwatibwa yatulugunyiziddwa ne bamwasa emimwe abasirikale.

Eddoboozi lya Nyanzi

Wabula oludda oluwaabi, lutegeezeza omulamuzi nti bakyanoonyereza, omulamuzi kwekutegeeza nti abavunaanibwa balina okweyimirirwa.
Omulamuzi bonna abakirizza okweyimirirwa ku mitwalo 20 ez’obuliwo buli omu ate ababeyimiridde obukadde 3 ezitali za buliwo era abalagidde okudda mu kkooti nga 23, omwezi gunno, Ogwomusanvu, 2020.
Dr. Nyanzi ne banne baakwattiddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu nga 8, Ogwomusanvu, 2020 okuva Biraj International Hotel mu Kampala okumpi ne Capital Shoppers nga bali mu kwekalakaasa nga baagala gavumenti eggule ebizimbe bya Akeedi.
Mu kwekalakaasa bawadde nsalesale wa nnaku 5 zokka nga Akeedi zigguddwa oba sikyo bakukunga bannabwe bakolewo akatiisa.
Nyanzi yabadde n’ab’ekibiina ekitaba abasuubuzi abakolera mu akeedi ekya Kampala Arcade and Traders’ Association (KATA) nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Katongole, omu ku baakwattiddwa era abayimbuddwa akawungeezi ka leero.