Omukyala Zari Hassan asabye Omubaka wa Palamenti owe Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okuwabula abawagizi be.

Bobi Wine y’omu ku bannayuganda abeegwanyiza entebe y’obukulembeze bw’eggwanga mu kulonda kwa 2021 okuvuganya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

Zari agamba nti abawagizi b’ekisinde ki people Power basukkiridde okuvuma abantu, ekintu ekiremesa bangi ku bannayuganda okubeegatako kuba kiraga nti tebagwanidde bwa Pulezidenti.

Asabye Bobi Wine okuteekawo embeera okusikkiriza abantu okumwegatako okusinga okubavuma n’okubatiisatiisa.

Mungeri y’emu Zari agambye nti Bobi Wine ayinza okuba akola ekintu ekituufu wabula abawagizi be basukkiridde okumusiiga enziro olw’enneyisa yaabwe.

Zari awadde Bobi Wine amagezi okuvaayo n’ebintu byasuubizza bannayuganda biweebwe abawagizi be mu ggwanga lyonna okubyeyambisa okusikkiriza abantu okusinga okubavuma.

Ebigambo bya Zari biraga nti ab’ekisinde kya People Power abavuma abantu balyamu Bobi Wine olukwe, okumulemesa obwa Pulezidenti mu kulonda kwa 2021 kuba bakoze kinene okulemesa abantu okudda ku sayidi yaabwe.

VIDIYO YA ZARI