Poliisi y’e Jinja eri mu kunoonya omusawo Dr. Daniel Kirunda ku misango gy’obulagajjavu, ekyaviriddeko omukyala n’omwana okufa.

Omukyala Leilah Nagambaki myaka 21 yafudde nga bakamulongoosa ssaako n’omwana gwe yabadde yakazaala, akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano ku Kiriniki ya Nile crescent mu kibuga kye Jinja.

Omukyala yabadde asabiddwa emitwalo 50 okumulongoosa era kigambibwa omwana yafudde nga bakamuggya mu lubuto oluvanyuma n’omukyala naafa.

Poliisi mu kunoonyereza, ekutte abakozi 4 ku kiriniki, omukyala kwe yafiiridde nga bakulembeddwamu agikulira Sumaya Namubiru, akulira okuggyako abantu omusaayi Eliphaz Katende n’abalala okuli Suleiman Taya ne Isaac Kwikiriza.

Abby Ngako, omwogezi wa Poliisi mu bitundu Kiira, agambye nti Poliisi eri mu kunoonya Dr. Kirunda, eyakulembeddemu okulongoosa omukyala eyafiiridde mu ngalo ze, aliira ku nsiko mu kiseera kino.

Mungeri y’emu agambye nti Kiriniki, teri mu mbeera nnungi era tekkirizibwa kulongoosa muntu yenna era buli ekyakolebwa, kimenya amateeka.